Olunyiriri lw'Essiga lya Kaddu Sekayiba

Olunyiriri lw'e Ssiga lya Kaddu Sekayiba

Mu ssiga lya Kaddu Sekayiba e Ssenge busiro tulina n'olunyiriri olw'Akasolya olwetuukira obutereevu ku ssiga. Owoolunyiriri aliko ye Walakira Robert, atuula Ssenge

 

 Empya eziri mu Ssiga lya Kaddu Sekayiba

    1     Mumaziwabbanja e Ssenge, lukulemberwa Kaddu Godfrey
    2     Kamakya e Namugongo, lukulemberwa Sekisambu Sam
    3     Kaamumpenda e Ssenge, lukulemberwa, Walakira Robert
    4     KKumiryampisi e Bugerere, lukulemberwa Sengooba
    5     Mukadde e Nabweru, lukulemberwa Nabembezi
    6     Kaleeba Sekisambu e Kawanda, lukulemberwa Nabembezi
    7     Kayanja e Nsala, lukulemberwa Makumbi Neeri
    8     Bukomuguma e Kagoma, lukulemberwa Lwanyaga Benjamiini
    9     Zingoobukeedo e Ggomba, lukulemberwa Walakira
    10     Musoke mu Kiganda, lukulemberwa Lutaakome Abubakali
    11     Makumbi Senkooto e Kawanda, lukulemberwa Dr. Walakira
    12     Nyenje e Nsala, lukulemberwa Daudi Nyenje
    13     Luwalira e Busukuma, lukulemberwa Sheikh Tiitiibya Ahamadd
    14     Mukandagga e Nakkumbo Kyaggwe, lukulemberwa Amiisi Ssekisambu
    15     Lwanyaaga e Magogo Busiro, lukulemberwa Lutaakome Lozio
    16     Ddiiro e Magogo Busiro,luku1emberwa Mukwaya Joseph
    17     Sekisambu e Kagoma, lukulemberwa Majwega
    18     Kazinga e Ggaba, lukulemberwa Sekalegga Rafayiri
    19     KKityamunyolo e Bussi, lukulemberwa Kityamunyolo
    20     Mugoowa e Namulonge, lukulemberwa Sekisambu
    21     Ssaabakata e Bunyama Kyaggwe, lukulemberwa Kirabira Mpindi
    22     Bwaggu e Busoga, lukulemberwa Nabembezi
    23     Kityamunyolo, lukulemberwa Idi Sengooba Kiiso Owoomutuba Kiyanzi Nnamige e Bbamba Ssanda Busiro. Aliko ye Frank Kyakoonye

Obade Okimanyi?

Jjajjaffe yabeeranga mu bizinga by’e Ssese ku kizinga Bunyama.

Ng’ali eyo yakwatibwa ekirwadde. Bwe yagenda ew’omuganga (omusawo ow’ekinnansi) yamulagula nga eddagala ery’okumuwon ya bw’ajja okuliwanga mu jjembe ly‘embogo ekitaali kyangu eri jjajjaffe.

Oluyimba lw'ekika ky'Embogo

Mbogo edited

Search