Abaakalya Obwakadu Sekayiba
Biki ebiri e Ssenge?
1. Embuga enkulu eya Kaddu Sekayiba.
2. Ekigyya kya Bakaddu Sekayiba e Kanikwa-Ssenge
3. Oluzzi Nangooma olwajja ne Kabaka Kimera
4. Oluzzi Nnaalongo
Enzizi zino omusana bwe gwayakanga Owessiga Kaddu
Sekayiba yagendanga n‘abazzukulu ne bazigogola era
n‘afumba n‘ekiJjulo ne bagabula. Waayitanga ekiseera
kitono enkuba n‘etonnya