Omutuba gwa Nawambwa
Obutaka bw’omutuba gwa Nawambwa buli Bugabo. Okwata ku luguudo lw’e Ntebe n’oviiramu ku mayiro kkumi na mukaaga (16) n’okwata eridda ku mwalo e Kkoko oba Garuga. Omutuba guno gukulirwa Nawambwa Francis Kaleeba Wakkanyuule.
Abaakalya Obwanawambwa bali musanvu (7) era be bano:
1. Nawambwa Bandi
2. Nawambwa Majwega
3. Nawambwa Wakkanyuule Kiwanuka
4. Nawambwa Mukookiro Lazaaro Kakadde Nsigo. Nawambwa ono yasoma n'abajulizi era n’awona okuttibwa nga bookya abajulizi ku mulembe gwa Ssekabaka Mwanga.
S. Nawambwa Isaaya Kinaagomba
6. Nawambwa Njuki Benwa
7. Nawambwa Kaleeba Wakkanyuule Francis
Enyiriri | ||
---|---|---|
1 | Majwega. Luno luli Bugabo era nga lwe luvaamu Nawambwa, nga lukulirwa omukulu Joseph Ssengooba. | |
2 | Mpagi olusangibwa e Kisuuto mu Mawokota era nga lukulirwa omukulu Mpagi Kulubi Yozefu. | |
3 | Ssebuko olusangibwa e Sebbobbo mu Ssingo era nga lukulirwa omukulu Ssemayobe. | |
4 | Kaleeba olusangibwa e Musisi Mmemde mu Busiro nga lukulirwa omukulu Kasibante | |
5 | Nyenje olusangibwa e Naggalama era nga terulina alukulira okuva eyali alukulira okufa. |