Omutuba gwa Kakadde
Omutuba guno gusangibwa Mpuku mu Kyaggwe nga gukulirwa omutaka Hannington Teyise. Okutuuka e mpuku okwata 1y’e Nkokonjeru. Bw’otuuka e Nkokonjeru a'okwata eridda e Nsuube ku Stella Maris. Ogenda munda mayiro kkumi (10) ng’oyo1ekedde ennyanja Nnalubaale, olwo oba otuuse.
Bano be Bakakadde abaakabeerawo:
1. Kakadde Kyakoonye Muweebya. Ono ye yakongojja Ssekabaka Kayemba owekkumi n’omusanvu (17)
2. Kakadde Wakwekweye Katanyagwa
3. Kakadde Naluswa
4. Kakadde Makubage
5. Kakadde Lutaakome George William '
6. Kakadde Hannington Teyise
Kakadde alina ennyiriri bbiri (2) era ze zino:
Enyiriri | ||
---|---|---|
1 | Olunyiriri lwa Kalanzani. Luno lwe luvaamu abalya obukulu bw’omutuba gwa Kakadde, Gukulirwa omukulu Kyakoonye. | |
2 | Olunyiriri lwa Nnyagozigombye, nga Gukulirwa omukulu Mukwaya. |