Omutuba gwa Bbuzibwa
Akulira Omutuba gwa Bbuzibwa ye Christopher Lwere e Kyannakase, mu Muluka Kyanakase. Eggombolola Ssaabawaali Bukoto, mu Ssaza Buddu. Okutuukayo okwata ku lw'e Mbarara n'ogenda e Kyoko-Bukoto.
Abazze balya obukulu obwo be bano:
1. Kabanda Ssajjabbi Alikisi
2. Sentamu Lule Nyansiyo
Bombi bagalamizibbwa Kyannakase.
Ennyiriri eziri mu mutuba gwa Bbuzibwa ze zino:
Abalenzi: | ||
---|---|---|
1 | Kabanda Ssajjabbi, lukulemberwa Omutaka Benedicto Joseph Walakira e Kyannakase, Bukoto Masaka-Buddu. Atuula Lubaga, Kampala ku luguudo Mankeni. | |
2 | Mukaabya, lukulemberwa Omutaka Stephen Nnyanzi e Ndozi Misansala, ggombolola Mukudde-Buwunga. Atuula Kabaale-Bugonzi, mu Muluka Bugonzi, Ggombolola Mitubeebiri Bukulula, mu Ssaza Buddu. Okutuukayo okwata Masaka-Kabaale-Bugonzi. | |
3 | Kigoogwa Kaddu, olukulemberwa Omutaka Paulo Sentamu Kayizzi, e Bbaale, Masaka-Buddu. Atuula Wakaliga, Kampala. |