Omutuba gwa Mazimba
Akulira omutuba gwa Mazimba ye Lule Sentamu Alozio e Misaali Nnyendo, mu Muluka Nnyendo, Ggombolola Mitubeesatu, mu Ssaza Buddu. Okutuukayo okwata Nnyendo-Mukudde-Misaali.
Abaakalya Obwamazimba ye Mikaayiri Bikyabyambuzi ne Sentamu Falasiko, bombi baagalamizibwa Nnyendo - Misaali
Ennyiriri eziri mu Mutuba gwa Mazimba:
Abalenzi: | ||
---|---|---|
1 | 1. Lutta e Manzi Kitovu, mu Muluka Kitovu, eggombolola Mituba Mukaaga, mu Ssaza Buddu. Okutuukayo okwata Masaka Nakayiba Kitovu Cathedral. | |
2 | Mbiikiti e Kitokolo, mu Muluka Mabuye, eggombolola Mitubeebiri Bukulula, mu Ssaza Buddu. Okutuukayo okwata ku lw'e Kalungu - Kasebutti - Kitokolo. |