Omutuba gwa Kipopolo
Akulira Omutuba gwa Kipopolo ye Kayanja e Katunku, mu Muluka Buyoga, eggombolola Kibinge (Musaale), mu ssaza Buddu. Okutuukayo okwata Masaka Kyabakuza Mateete Misanvu Buyoga Parish Katunku.
Abazze balya Obwakipopolo be ba Sekaayi ne Nnyanzi. Bombi bagalamidde Kibinge - Katunku.
Ennyiriri eziri mu Mutuba gwa Kipopolo ze zino:
Enyiriri: | ||
---|---|---|
1 | Mubyazaalwa e Kiyumba mu ggombolola Mitubeesatu Mukiise, Buddu. | |
2 | Tabula mu ggombolola Mitubeesatu Mukiise, e Misansala, Buddu. | |
3 | Kaberenge e Kabaale mu ggombolola Kibinge-Buddu. | |
4 | Sentamu e Kitinkokola Mityana-Ssingo. |