Omutuba gwa Kityamuweesi Sekibaala
Agukulira ye Sheikh Nnyanzi Edrisa. Gusangibwa Kyamula Bukunda, eggombolola Ssaabagabo Kyannamukaaka, Buddu. Okutuukayo okwata Kyotera n'okyamira e Bukunda Kyannamukaaka - Kanoni - Kyamula.
Abazze balya Obwakityamuweesi be bano:
1. Ali Kizza. Yagalamizibwa Kabuntoko
2. Abudunuulu Kasibante e Kituuku mu Kooki
Ennyiriri eziri mu Mutuba Kityamuweesi ze zino:
Enyiriri: | ||
---|---|---|
1 | Nnyengere, lukulirwa Emanweli Majala e Sennya Ma Masaka - Bukoto | |
2 | Balamaze, lukulirwa Hajji Yasiini Kyagulannyi e Kasenyi - Salaama, ggombolola Makindye.Tabula mu ggombolola Mitubeesatu Mukiise, e Misansala, Buddu. | |
3 | Lukusa, lukulirwa Hajji Kabanda Sula e Kinyerere. Okyamira Matanga mu ggombolola Mitubeesatu Mukiise Mukungwe, mu Buddu. | |
4 | Kimenya, lukuliirwa Muyira Emanweli e Kaabuwoko Ssaabagabo Kyannamukaaka mu Buddu. | |
5 | Kadaali, lukulirwa Sheikh Sengooba Haruna e Budda Masaale Butenga mu Buddu. |