Omutuba gwa Kikere

Omutuba gwa Kikere

Agukulira ye George William Bugembe e Kabaale mu Muluka Maleku, Ggombolola Kibinge, mu Ssaza Buddu. Okutuukayo okwata Masaka Kyabakuza Mateete Buyoga Kabaale.

Abaakalya Obwakikere be bano:
1. Yoweri Wamala Kikere
2. George William Mukwaya Kikere. Bombi baagalamizibwa Kabaale.
Omutuba gwa Kikere gulimu ennyiriri mukaaga (6):

 Enyiriri:

    1   Kikere, alutwala ye Mulyansaka K. Godfrey e Kabaale mu Muluka Maleku Ggombolola Kibinge Nsimi mu Ssaza Buddu. Okutuukayo okwata Masaka Kyabakuza Mateete Buyoga mu Kibinge.
    2     Musamiraki, alutwala ye Semei Namuyenga e Nkoma mu Muluka Buyaga eggombolola Kyannamukaaka mu ssaza Buddu. Okutuukayo okwata Masaka Kidda Nkoma.
    3     Kyakulimbyeki, alutwala ye Willy Kasibante e Kiyooka mu Muluka Kiryasaaka eggombolola pbb Kibinge mu Ssaza Buddu. Okutukayo okwata Masaka Kyabakuza Matette Buyoga mu Kibinge.
    4     Mutale, alutwala ye Majwega Lule e Kabaale mu Muluka Maleku eggombolola Kibinge mu Ssaza Buddu. Okutuukayo okwata Masaka Kyabakuza Mateete Buyoga mu Kibinge.
    5    Kalagi, alutwala ye Ddumba Lule e Butale mu Muluka Bukoto eggombolola Bukoto mu Ssaza Buddu. Okutuukayo okwata Masaka-Kyanjale Kyotera.
    6     Nnyanzi, alutwala ye Paul Bulemba e Kyabiri mu Muluka Maleku eggombolola Kibinge mu Ssaza Buddu. Okutuukayo okwata Masaka Kyabakuza Mateete Buyoga mu Kibinge.

Obade Okimanyi?

Jjajjaffe yabeeranga mu bizinga by’e Ssese ku kizinga Bunyama.

Ng’ali eyo yakwatibwa ekirwadde. Bwe yagenda ew’omuganga (omusawo ow’ekinnansi) yamulagula nga eddagala ery’okumuwon ya bw’ajja okuliwanga mu jjembe ly‘embogo ekitaali kyangu eri jjajjaffe.

Oluyimba lw'ekika ky'Embogo

Mbogo edited

Search