Omutuba gwa Nkoobwa
Mu 1988, bakadde baffe omwali Musenzaalanda Nnyanzi, Semu Sentamu, David Sempiira, Yokaana Serubogo, Yoweri Nnyanzi, Yokaana Makumbi, Kezekia Nnyanzi, Andrew Sekaayi, ne mutabani waabwe Kalesipo Kabanda, nga kw'ogasse ne bassenga Joyce Nabbanja, Lwasampijja, Loy Ddambya Kamya ne Lidia Nabafuma Ntambi; bwe baakizuula ng'olunyiriri lwa Nkoobwa lwali lugaziye nnyo, baatuula ne basalawo lukutulwemu kisobozese okufuna obukulembeze obwetongodde kinnakimu.
Baasalawo okusaba Owessiga Kyagambiddwa 1 akkirize okukuza olunyiriri olwo lutuuke ku ddaala ery'omutuba. Okusaba okwo Owessiga Kyagambiddwa 1 naye yakukkiriza.
Omutuba gwa Nkoobwa embuga yaagwo eri ku mutala Mayungwe, Ssaabawaali Bulo mu Butambala. Oyita e Mpigi - Kabasanda Gombe ne Kyerima oba Mitalamaria Kasoso ne Kyerima.
Obujjajja bwa Nkoobwa bwerambika bulungi nga buva ku jjjajjaffe Munaana, omu ku baana Kayiira Mawampa be yazaala. Munaana yava e Ssingo n'agenda e Ssese. Eyo yazaalirayo abaana bangi. Abamu ku bo be bano: Walakira, Luswalula, Ndege, Lwenswa ne kabonzo.
Zino ze nnyiriri eziri mu mutuba gwa Nkoobwa n'abakulembeze baazo:
Ennyiriri | ||
---|---|---|
1 | Basenero; Embuga eri Kabaale Busiro. Owoolunyiriri ye Ntwatwa Ronald, abeera Kawempe Kyaddondo. | |
2 | Kimaliridde; Embuga eri Kanyaga Nkoma Buddu, Pratyali ekulemberwa omukulu Yokaana Sserubogo era yafa. Yali abeera Buziga Salaama. | |
3 | Batulabudde Kabulugu; Embuga eri Ddegeya aby Buddu. Owoolunyiriri yali Lutaakome Nnyanzi Fred era yafa. Olunyiriri luno lukuumwa omukulu Kezekiya ZAVO Nnyanzi abeera e Bukango Buddu. | |
4 | Bakiddaawo Gasaakadde; Embuga eri Kayugi BBuddu. Owoolunyiriri ye Kabanda Kerespo abeera e Mayungwe mu Butambala. | |
5 | Mukwaya Wankwasi; Embuga eri Kapeeka Bulemeezi. Owoolunyiriri ye Mukwaya Wakibi Edward, abeera Kapeeka Bulemeezi.Kamiri e NOmugongo Kyaddondo, lukulemberwa Rev. Kiwummulo Nyenje | |
6 | Ddumba Kyobe; Embuga eri Kabaala Busiro. STOwoolunyiriri ye Mukwaya Daniel. Abeera Kabaale Busiro. | |
7 | Bakamempisi; Embuga yali Nansana naye omusika yagizza Bbajjo mu Bulemeezi. Owoolunyiriri yali Hajji Lutakome yafa. | |
8 | Sentamu Musenzaalanda; Embuga eri Kikamulo mu Bulemeezi. Owoolunyiriri ye Walakira Lameck Kaggwa Ssaalongo. Abeera Katwadde Mpugwe-Buddu. | |
9 | Kabanda Gita; Embuga eri Mayungwe-Butambala. Owoolunyiriri ye mukulu Makumbi Yosam, abeera e Katuuso Buziga mu Kyaddondo. | |
10 | Ddungu; Embuga eri Mayungwe-Butambala. Owoolunyiriri ye Mukwaya James. Abeera Mulungu Salaama Kyaddondo. Mu lunyiriri luno mwe muva Owoomutuba Nkoobwa. |