Omutuba gwa Kyagulanyi
Embuga eri Kigogolo Busujju. Guno gwe mutuba omukulu ogwasooka mu ssiga lya Ssemitego ogukyatuuka ewa Ssemitego. Owoomutuba aliko we tuwandiikidde ekitabo kino ye Makumbi Benedicto.
Omutuba guno gwebuuzibwako ensonga nnyingi era guvaamu omukongozzi atwala amayembe ga Kabaka okukiika e Mbuga. Kyagulanyi, y’alasa akasolya okusereka ennyumba ya Nnyanzi (Nnyanzi ne Kabanda z’engo z'oweessiga Ssemitego) ey’ekiggwa ku mutala Nnyanzi. Kawuuzi y’awoola amaliba agaleega eppoma za Ssemitego.
Bakyagulanyi baddiriŋŋana bwe batti:
Ssemitego y’azaala Kayumbu, eyazaala Kyagulanyi, eyazaala Nnyanzi, eyazaala Mukwaya, eyazaala Munyolaagenze. Ye yazaala Kaate, eyazaala Ssebadduka, eyazaala Ngabo e Zzaaya, eyazaala Lule Lwago, eyazaala Semeo Balimutta, eyazaala Yowaana Bugembe, eyazaala Benedicto Makumbi aliko kati.
Enyiriri | ||
---|---|---|
1 | Kaate e Buluma. | |
2 | Balemeezi eWakiso. | |
3 | Ssebaddwa e Lukwanga. | |
4 | Lwanyaaga e Kyamusisi. Nnyanzi Muswayiri, luli Bugerere | |
5 | Ntwatwa e Kiwanda-Busujju. | |
6 | Muwaya e Nnyanzi-Ssingo. | |
7 | Lupere e Sseeta-Busujju. |