Omutuba gwa Muwafu
Owoomutuba aliko we tuwandiikidde ekitabo kino ye Kabanda, abeera Nnyanzi Ssingo. Mutuba mukulu, gulina emikolo egy’ennono mu Ssiga gye gukola. Gwe gukuuma ekiggwa omuli amayembe ga kabaka e Kabanda. Guvaamu omusigire akuuma ekiggwa n'okukuma ekyoto mu kiggwa. Guzimba ennyumba ey’ekiggwa.
Omutuba guno ogwa Muwafu era gukuuma abaana ' ba Ssemitego ab’emisambwa gye nga Nnyanzi ne Kabanda. Emisambwa gino gibeera mu biggwa e Kabanda ne Nnyanzi. Guvaamu abazizl n abatabaazi ba Ssemitego bangi. Guvaamu ne Bazirambogo (akuuma amafumu ga Ssemitego).
Bamuwafu baddiriŋŋana bwe bati:
Kirubaale Kyewaggwa y’azaala Muziziko, eyazaala Nkemba, eyazaala Gandi, eyazaala Muwafu Mawejje, eyazaala Ssewakuka, eyazaala Lujjumwa Woomerako, eyazaala Ssewakuka, eyazaala Ssebadduka, eyazaala Malittini Mawejje, eyazaala Mikayiri Ngalomyambe, eyazaala Austine Nkonwa, eyazaala Kabanda aliko kati.
Ennyiriri z’omutuba gwa Muwafu ze zino:
Enyiriri | ||
---|---|---|
1 | Woomeraka Lujjumwa e Luswa | |
2 | Kikanziira e Kiduukulu-Ssingo | |
3 | Baziira e Nnyanzi-Ssingo | |
4 | Kyagulanyi Kisaka e Kirebere-Busujju Nnyanzi Muswayiri, luli Bugerere | |
5 | Ssebadduka e Lusanja-Ssingo |