Omutuba gwa Kisero
Embuga y’omutuba gwa Kisero eri Nnyanzi mu Ssingo. Owoomutuba ye Kabunga, abeera Nnamutamba Mityana mu Ssingo. Omutuba guno gwavangamu abakubi b’ebivuga bya Ssemitego n'okubikuuma. Ab’omutuba guno, baasiiganga abaana mu mbuga ya Ssemitego okuyiga okukuba ebivuga n'okuyimba.
Gwalina ensuku n’ekiraalo ky’ente ebya Ssemitego ku mutala Maggya omwavanga amakula Kisero ge yatwalanga embuga.
Olw’obugagga bwagwo ate nga guli wala okuva e Nnyanzi ewa Ssemitego, Sekayiba e Ssenge yayagala agutwale. Gwavafimu abaami ba kabaka bangi era baafuna Obwassemusota.
Bakisero baddiriŋŋana bwe batti:
Ssemitego yazaala Sekyanda, eyazaala Ddamulira, eyazaala Katazimbye, eyazaala Mubirimira, eyazaala Kabesuka, eyazaala Majwega, eyazaala Mugongonjovu, eyazaala Kisero, eyazaala Ssenswa Lubandi eyasikirwa mutoowe Philipo Bagundeese eyasikirwa Yosefu Lwanyaaga Kisero, eyazaala Drake Sekyanda lI Kisero, eyazaala Ddumba John Kisero, eyazaala Kaabunga aliko kati.
Zino ze nnyiriri eziri mu mutuba gwa Kisero ne gye zisangibwa:
Enyiriri | ||
---|---|---|
1 | Enda ya Sekyanda Kisero e MaggyaWoomeraka Lujjumwa e Luswa | |
2 | Mugongonjovu e Kabanda - Ssingo | |
3 | Lwanyaaga e Nambute - Ssingo | |
4 | Musikambuzi e Kazize - Busiro Nnyanzi Muswayiri, luli Bugerere | |
5 | Nnyanzi e Kikubampanga - Bulemeezi | |
6 | Ddumba e Lwanyi - Ssingo |