Omutuba gwa Luzige
Ebyaafayo by’Omutuba gwa Luzige jjajja w’abaana Sentamu e Bukalakamba Mugulu mu Ssingo bye bino:
Jjajjaffe Makumbi Gaajjuule ne batabani be (Abaamasiga) nga bamaze okukomekkereza olugendo lwabwe olw’okuva e Bunyoro (e Mazigita) okutwala omulangira kimera n'okumutuuza ku Namulondo ya Buganda,Gaajjuule yakomawo n'akkalira e Mugulu oluvannyuma ne mutabani we Ssemitego naye n’akkalira e Nnyanzi gye yazaalira abaana be abawerera ddala nga omwo mwe mwali Luzige Sentamu.
Nga wayiseewo ebbanga, mu mirembe gya Ssekabaka Kimera jjajjaffe Ssemitego yasindika mutabani we Luzige e Mu gulu ewa kitaawe Gaajjuule ng’ensonga enkulu ezamusindisa ze zino:
1. Okuweereza kitaawe Kayiira Gaajjuule mu mirimo gyonna egy’awaka
2. Gwalinga mulimu gwa luzige okuduka okukila akaweewo okugenda e Nyanzi okutegeeza kitaawe Ssemitego embeera ekwaata ku jjajjaawe Gaajuule nadala mu bulwadde ne mu nsonga endala ezagwangawo e Mugulu nga zeetagisa Ssemitego azimanye mu bwangu, oba nga Ssemitego yeetagibwa kitaawe mu bwangu nga luzige y'abagata bombi mumpuliziganya.
Emirimo emirala Luzige gyeyakolangaera egyamufuula omuzzukulu ow'oku lusegere omuganzi ennyo ewa Kayiira mwalimu
1. Okukuuma n’okulabirira ekyoto n’ebikigenderako
2. Okwaniriza abagenyi n’okubatuu za
3.Okutumib wa wonna buli lwe kyetaagisanga
Luzige ng’ateekwa okumanya jjajjaawe bw’assa ekiro, bw’asiibye ne ky ayagala kimukolerwe
Olw’o buweereza buno obulungi, Luzige yatongozebwa n’ayitibwa omuzzukulu omuweereza wa Kayiira ow’oku lusegere omuganzi. Luzige yaganja nnyo ewa jjajjaawe Kayiira. Era bwe yasajjakula yamugaana okuddayo ewa kitaawe Ssemitego e Nnyanzi. Ng’alaga okusiima kwe yamuwa ekyalo Bukalakamba n’amulagira akkalire awo n’abaana be n’abazzukulu, asoboleokweyongera okumuweerezanga era omulimo ogwo gwafuuka gwa nsikirano, nakati bakyagukola
Ssemitego bwe yabanga anaagenda e Mugulu, Luzige n’abaana be n’abazzukulu baatambulanga ebyalo ne bagenda okulinda kitaabwe Ssemitego era ng’abasanga Mugulu w’atandikira emitala w’omugga gw’e Mugulu Nnyanzi, olwo nno Luzige namwaniriza mu mizira egitatendeka, embuutu, endingidi, n’amakondeere nga bwe bivuga.
Yamuyingizanga mu Lubiri gye yasanganga kitaawe, ate omubala, emigudo n’ebivuga ebya buli kika ne bivuga mu ssanyu.
Baluzige baddiriŋŋana bwe bati:
1. Luzige Sentamu, jjajja w'abaana
2. Luzige Makumbi, e Bukalakamba Mugulu
3. Luzige Tabusolome Taziyizika, e Bukalakamba Mugulu
4. George Kyagulanyi, e Bukalakamba Mugulu
5. Topher Walakira, e Bukalakamba Mugulu,
(y’aliko kati ekitabo wekiwandiikiddwa).
Zino ze nnyiriri eziri mu Mutuba gwa Luzige:
Enyiriri | ||
---|---|---|
1 | Kimpi Kirindwa e Mugulu, lukulirwa Cosimas Luzige e Mbaale-Mugulu | |
2 | Sendiwannyo Mbugaano, lusangibwa ku kasozi Kyaggwe, lukulirwa Ssennono Yawe | |
3 | Makumbi e Bukalakamba, lukulirwa Topher Walakira | |
4 | Nakamaali e Katwe Kinyolo, lukulirwa Danlel Walakira Nnyanzi Muswayiri, luli Bugerere | |
5 | Nkayiivu e Mugulu, lukulirwa Sendiwan yo | |
6 | Kakuba Nnamalego, lukulirwa Walakira ku Kaleerwe. |