Omutuba gwa Bulezi
Embuga y'omutuba gwa Bulezi era Munyonyo Nnyanzi mu Ssingo. Owoomutuba aliko we tuwandiikidde ekitabo kino ye Yozefu Bulezi II era eyo gy’abeera. Omutuba guno gwe gukuuma abaana ba Ssemitego abalongo
Gwava mu mutuba gwa Muwafu mu biseera Bassemitego we bataazaalira baana balenzi. Gwe gukuuma ekyoto kya Ssemitego mu maaso g’ennyumba Njayantyo.
Abeemituba abaakalya baddiriŋŋana bati:
Gandi yazaala Kaziziko,eyazaala Seruyange Bulezi, eyazaala Muliika Kayanja, eyazaala Nazali Nkemba Ssenkaki, eyazaala Tebukozza Nkangaall, eyazaala Siraasi Makumbi, eyazaala Emanuel Kayanja, eyazaala Yozefu Bulezi aliko kati.
Zino ze nnyiriri eziri mu mutuba gwa Bulezi ne gye zisangibwa:
Enyiriri | ||
---|---|---|
1 | Makumbi e Nnyanzi-Ssingo | |
2 | Alikisondeze Sentamu e Katumu-Mawokota | |
3 | Viririan Sentamu e Mpanga - Mawokota | |
4 | Bazltya e Kitebi - Kyaddondo Nnyanzi Muswayiri, luli Bugerere |