Omutuba gwa Kizindo

Omutuba gwa Kizindo

Embuga y’omutuba gwa Kizindo err Mizinda-Busiro. Owoomutuba aliwo ye Ddumba abeera Ssemuto Mijinje - Bulemeezi. Mutuba muto era gwava mu lunyiriri lwa Ssemitego olukulu. Bajjajja babeera Kabanda gye baavanga okutwala emmandwa za Ssingo, Wamala ne Nnyanzi mu kusamira ewa Ssaabasajja, ng’Abanyoro balumbye Ssingo. Bwe batyo baafuna obwa Ssemusambwa. Baali batabaazi kayingo.

Bakizindo baddiriŋŋana bwe bati:
Lule Mududubya Ssemitego, yazaala Ssebadduka Ssemusambwa, eyazaala Muwanga Seppiriya Ssenkandwa, eyazaala Yakobo Mawejje Sekandi, eyazaala Berlnadino Kizindo, eyazaala Lozio Nkonwa Kizindo, eyazaala Ddumba Godfrey Kizindo aliko kati ekitabo kino we kiwandiikiddwa.

 Enyiriri

    1     Mawejje e Mizinda
    2     Mawejje Yakobo Ssekandi e Bulemeezi
    3    Yawe e Maganjo
    4     Mulimansi e Buddu
    5     Kawaganya e Mawokota

Obade Okimanyi?

Jjajjaffe yabeeranga mu bizinga by’e Ssese ku kizinga Bunyama.

Ng’ali eyo yakwatibwa ekirwadde. Bwe yagenda ew’omuganga (omusawo ow’ekinnansi) yamulagula nga eddagala ery’okumuwon ya bw’ajja okuliwanga mu jjembe ly‘embogo ekitaali kyangu eri jjajjaffe.

Oluyimba lw'ekika ky'Embogo

Mbogo edited

Search