Omutuba gwa Lugagali
Embuga y’omutuba gwa Lugagali eri Kigogolo Busujju. Owoomutuba ye Joshua Kabanda Lugagali. Omutuba guno muto. Gwali gwakakasibwa Ssemitego Puko Kizire nga gwa mu lunyiriri lwa Ssemitego olukulu.
Balugagali baddiriŋŋana bwe bati:
Nkonwa Ssemitego yazaala Nkumba II, eyazaala Matembe, eyazaala Kabanda, eyazaala Joshua Kabanda Lugagali aliko kati ekitabo kino we kiwandiikiddwa.
Zino ze nnyiriri eziri mu mutuba gwa Lugagali ne gye zisangibwa.
Enyiriri | ||
---|---|---|
1 | Lule e Gayaaza - Kyadondo | |
2 | Lugagali Ntanda e Manyama | |
3 | Musoke e Nambiriizi | |
4 | Bugandanswa e Kabasumba | |
5 | Makobo Ssemugwe e Bukulula - Masaka | |
6 | Kaluma e Kyango | |
7 | Mpaka e Gayaaza - Kyampagi | |
8 | Nantajjd e Kirumba - Kalisizo |