Obubaka Bwa Kayiira Gaajuule

Image

Obubaka bwa
Kayiira Gaajuule

Omutaka Fredrick Kasibante

"Ebika byaffe okugenda mumaaso, bazzukulu baffe bateekwa okumanya n'okutegeera ennono, obuwangwa n'obulombolombo okwazimbibwa ebika bya Buganda"

Ambaana n'abazzukulu na buli muntu yenna asoma ekitabo kino nkwanirizza nnyo.

Omulembe guno omutebi, abazzukulu bangi begwanyiza buli kimu ekibasala mu maaso okugeza; obukulembeze, obusika , ebyobugagga, okumanya, okusalawo , n'ebirala bingi emirundi egisinga nga beyambisa obuyigirize bwabwe n'obugagga byebalina olwo nebamatiza bannaabwe nti bebaalibadde mu buvunaanyizibwa obwo.
Ekika mu nnono, obuwangwa n'obulombolombo.

Kizimbwa ku bantu abomusaayi nga ogumu mu buzaale nga bwansikirano. Ennono enywezebwa ekifundikwa nga omusajja asikirwa musajja n'omukazi nga asikirwa mukazi nga ba muziro gumu.

Era nga wanju eyo songa mu nju eyo bwesaanawo (Abantu nga bafudde bonna) Bafuluma mu nju eyo nebagenda mu lugya nebalondayo ow`olubu najja n'asikira omusaayi okutwala mu maaso ensikirano eno.

Mu kika sibuli muntu nti asiki ra munne okugeza tulina enju. olugya, olunyiriri, omutuba / enda, essiga n'akasolya.
Omuzzukulu ava mu ssiga tasikira wamu kasolya era naava mukasolya tasikira wa ssiga kyokka era nemu ssiga ow'Omutuba omulala tasikirwa ava mutuba mulala bwekityo ne munnyiriri n'okutuuka mu nju zaffe.

Kale nno bwetumanya ekyo eky'ennono tuteekwa okweggyamu omululu, okweyagaliza, n'okwegwanyiza, entalo n'okwetuuma ekyo kyotoli mu bika byaffe mu ntebe y'obukulembeze obw'ensikirano ebeeramu omuntu omu kyo kka ateekwa okubeera n'abayambi abamusobozesa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwalina, gamba nga Katikkiro we, omuwandiisi n'ab alala. Kino kimuyamba obutamenyeka nnyo, n'emirimu okutambula obulungi.

Mu nnono ekika kiteekwa okubeera ne ttaka okubeera embuga yakyo, webagalamiza abafu bakyo (okuziika), webakolera emirimu era we balimira emmere obwo bwe butaka.

Mungeri yeemu mu bukulembeze bwonna okutuukaa ku w'enju ettaka liba lya kika wadde abangi kubazzukulu batunulira jajjabwe owakasolya nga yateekwa okukuuma eby'obukulu bwa offisi ye bo nebalowooza mbu ebya offisi zabwe byabwe nga abantu eyo ndowooza nkyamu eby'owakasolya , owessiga, omutuba n'okuka wansi ku nju byansikirano yabwe mubukulu bwaabwe tebitundwa kuba byansikirano etambula nga egeenda mumaaso.

Abo bona abakaayana nga balowoza nti ova mu ssiga n'okaayanira ebyakasolya oba ku mutuba n'okayanira ebyesiga mu nnono toba mutuufu okugyako nga abawagulu bonna bafudde nebaggwawo awo owe'ssiga atwaala obuvunanyizibwa obwokudda mu nsikirano ye ttaka lya kasolya.

Bino byonna bibadde bimalamu bazzukulu baffe amaanyi nga balulunkanira ebintu olwobutamanya nnono obuwangwa n'obulombolombo bw'ebika byaffe.

Mu nnono bull muzzukulu yeyagalira mu jajja we amutembeeta okumutuusa ku mutendera oguddako okutuukira ddala ku jjajja we owakasolya. Kino kiteekwa okunwyezebwa.

Ku mulembe guno abazzukulu bangi babuuka amacco nebatayita ku mitendera egiteekwa kuyitibwamu newesanga ng'omuzzukulu awandiikidde owessiga nga n'owomutuba mwava tamanyi abalala bawandokira jajjaabwe owakasolia butereevu nga owolugya mwava tamanyi, olunyiriri, omutuba nowessiga bonna tebamanyi kyokka nebatuuka nokuvvoola Entebbe ezo.

Bwetubuuka amacco tufiirwa okumanya,okuwabulwa, obumu,
okutegeera, obuwulize era tukutuula ku lusegere Iwe bika byaffe okubikuuma nga binywevu.

Tekikoma kwekyo kyokka obwesige. obuwulize, amazima, obujulizi, obwenkanya n'obwesimbu byekweka.

Binno bwebibeerawo mu kika bireeta entalo n'ekika kizingamu, bazzukulu baffe nsaba enkola eyo mu gyewale tusobole okubinyweza nokubikula kulanya naffe abali mu bifundikwa eby'ensikirano woofiisi zaffe tuzikuumire ku nnono zireme kusaanawo n'okuyuzibwayuzibwa omulembe.

Wano njagala okwebaza bonna abatambulidde mu nnono z'ekika kyaffe eky'embogo n'obuganda nga tutuukiriza obuvunanyizibwa bwaffe.

Naddala okulaba ng'emirimu gyekika gitambula okugenda mu maaso, naddala egy'ennono nga okukwatirako jajja ffe kayiira, olukiiko olwakatikkiro abakongozzi, Nsigo, Kaamanyi, Buganda bumu nabasiige bonna mwebale... wano nsaba buli muzzukulu yeweeyo tusitulire wamu ekika kyaffe kituukane n'omulembe gwetuliko.

Abazzukulu emirundi mingi twogera, twemulugunya, tunenya oluusi nokwewanira mu kintu kyokka, nga tokirinako kyotaddeko.
Nze ndowooza tufeeyo nnyo tukolere wamu, bwekuba kuzimba, laba nga naawe olina kyoteekako bwegiba mizannyo waakiri jangu okube en- duulu tulyoke tutuuke kubuwanguzi nga ffenna tutaddemu obusobozi bwaffe.

Obade Okimanyi?

Jjajjaffe yabeeranga mu bizinga by’e Ssese ku kizinga Bunyama.

Ng’ali eyo yakwatibwa ekirwadde. Bwe yagenda ew’omuganga (omusawo ow’ekinnansi) yamulagula nga eddagala ery’okumuwon ya bw’ajja okuliwanga mu jjembe ly‘embogo ekitaali kyangu eri jjajjaffe.

Oluyimba lw'ekika ky'Embogo

Mbogo edited

Search