Essiga lya Kasamba e Busamba
Owessiga lya Kasamba ye Wavvuuvuumira Kasamba e Busamba. Kasamba aliko kati amannya ge ye Deo
Sentamu II era nga ye mwana wa Makumbi Kayiira, muto wa Ssemitego e Nnyanzi.
Mu buzaale baazaalibwa abaana bataano (5) nga be bano: Kaddu, Walakira, Ssemltego, Wavvuuvuumira ne Namagembe.
Entandikwa y’erinnya Kasamba Omulangira Kimera, Makumbi n’abaana be n’abalala bwe baava e Mazigita, Wannyana n’akoowa era n’ayagala okuwummulako mu kasaka awaali onnutr oguyitibwa omuggamansole.
Awo Wavvuuvuumira we yasamba akasaka Wannyana awummuleko, olw'ekiko1wa ekyo we yafunira n’erinnya erya Kasamba era kwe kwava n’erinnya Namasole n'embuga ye okuyitibwa olusaka.
Wavvuvuumira Kasamba yasooka kubeera ne mukulu we Kaddu Sekayiba, kyokka ku mulembe gwa Kayiira Hasibante Federiko Daudi III, Wavvuuvuumira Lubajja Gabudyeri yawaabira mukulu we Kaddu Sekayiba o1w’okumunyagako obuyinza bwe.
Olw’okubanga yali atuuka butereevu ewa kitaawe, omusango yagusinga era okuva mu mwaka gwa 1942 n’atandika okwetuukira ewa kitaawe Kayiira era n’essiga lye ne likakasibwa ku mulembe gwa Ssekabaka Edward Muteesa II.
Essiga lya Kasamba lisangibwa wa?
Essiga lino lisangibwa ku kyalo Busamba mu muluka gwa Musaale Malangaata mu Ggombolola ya Mutuba III Nnamayumba mu ssaza lya Ssaabasajja ery‘e Busiro.
Okutuuka e Busamba okwata ku lw’e Hoima n’oviiramu e Nnamayumba mayiro abiri mu munaana (28) n’okwata eridda ku ggombolola. Mu nda ziri mayiro nga ssatu (3).
Bw'oba oyise ku luguudo lw’e Mityana oviiramu Buwalula n'okwata eridda ku kkomera ly’e Kitalya era nayo osobola okutuuka ku butaka.