Olunyiriri lw'akasolya e Mugulu -Ssingo

Omukulu w’olunyiriri lw’Akasolya k’ekika ky’Embogo ye Jjajja Kayiira Kizzayennyini, wabula olw’obuvunaanyizibwa obungi bwalina alonda omu ku bakulu b’enda eziva mu lunyiriri lw'Akasolya naweebwa Obwassaabalangira.

Obwassaabalangira tebuba bwa nsikirano wabula lwa busobozi ng’omutaka Kayiira bw’aba asiimye Bwatandikira eyo mu mirembe gya Ssekabaka Ssuuna II, era Embuga enkulu eya Ssaabalangira esangibwa Mugulu mu Ssingo, rig eyo we wali ekibanja ekyaweebwayo jjajjaffe. Enkiiko zonna ez'Olunyiriri lw’Akasolya Ssaabalangira gy’azituuliza.

Biki ebiri e Mugulu ebikulu?
1. Embuga ya Ddungu
2. Olusozi lw’Abalangira
3. Oluzzi Nabitalo
4. Embuga ya Makumbi Kayiira Gaajjuule I
5. Amasiro ga Bassekayiira (Olw’omukago wakati w’Abalangira n’Abembogo, Kayiira bw'azaama emikolo egimukolwako gifaanana n’ekikolwa ku kabaka ng’akisizza omukono.
6. Obutaka bw’Abembogo
7. Ekiggwa ekikulu eky'Embogo

Obade Okimanyi?

Jjajjaffe yabeeranga mu bizinga by’e Ssese ku kizinga Bunyama.

Ng’ali eyo yakwatibwa ekirwadde. Bwe yagenda ew’omuganga (omusawo ow’ekinnansi) yamulagula nga eddagala ery’okumuwon ya bw’ajja okuliwanga mu jjembe ly‘embogo ekitaali kyangu eri jjajjaffe.

Oluyimba lw'ekika ky'Embogo

Mbogo edited

Search