Essiga lya Kyagambiddwa e Kyasa

Ebyafaayo by’essiga lya Kyagambiddwa
Kyagambiddwa ye teyali mwana wa jjajjaffe Kayiira; ye muzzukulu.

Mu 1977, jjajjaffe Ssekayiira Daudi Kasibante XIII eyaliwo mu kiseera ekyo, yakizuula nga waliwo bazzukulu be abaali bataataaganyiziddwa olw’entalo n’obutaali butebenkevu mu ggwanga. Abasinga obungi baali mu ssaza ly'e Buddu.
Bw‘atyo yasalawo okubawa essiga eryabwe.

Abazzukulu bano baava mu Lunyiriri lw'akasolya mu mutuba gwa Mujjankondo. Essiga lino baalimusigikira nga 30/9/1978.

Omuzzukulu eyali akulembera olunyiriri olwo gwe yasalawo okuzaala era n amuwa essiga eryo.

Omuzzukulu oyo ye mugenzi Sentamu Edward Patrick.
O1w‘okuba nga jjajjaffe ekigambo yagamba kigambe, essiga nalyo ne liyitibwa Kyagambiddwa.

Obutaka bw’essiga lya Kyagambiddwabuli kumutala Kyasa mu Buddu. Owessiga, omugenzi Sentamu Edward Patrick yabeeranga Kingo Kinoni mu Buddu era ye Kyagambiddwa I

Ng’avudde mu bulamu bw’ensi eno Prof. John Ddumba’ Sentamu Nnaakalyakaani yamuddira mu bigere nga 9/5/2009. Ono nno ye Kyagambiddwa 11.
O1w’okubanga Kyagambiddwa yali yeetaaga okuba n’abaana abanaakulembe ra abazzukulu mu mituba, empya ze yali nazo ng’akuziddwa okubeera Owessiga, zaakuzibwa ne zifuuka emituba.

Obade Okimanyi?

Jjajjaffe yabeeranga mu bizinga by’e Ssese ku kizinga Bunyama.

Ng’ali eyo yakwatibwa ekirwadde. Bwe yagenda ew’omuganga (omusawo ow’ekinnansi) yamulagula nga eddagala ery’okumuwon ya bw’ajja okuliwanga mu jjembe ly‘embogo ekitaali kyangu eri jjajjaffe.

Oluyimba lw'ekika ky'Embogo

Mbogo edited

Search