Erinnya Kayiira lyajja litya?

Erinnya Kayiira lyajja litya?

Jjajjaffe Makumbi bwe yali ayigga n’embwa ye Ssemagimbi, ekyuma kyayo ne kigwa mu nsiko. Makumbi kye yakola kwe kwokya obuyiira asobole okuzuula ekyuma ekyo. Omulangira Kimera ng’ali ku lusozi Mulanga n’alengera oluyiira, kwe kubuuza nti, “Eni ayokezza oluyiira?” Baamuddamu nti, “Makumbi, abadde anoonya kide kya mbwa" . Awo Omulangira kwe kubaddamu nti, “ye Kayiira?” Awo erinnya erya Kayiira we lyatandikira.

Abembogo basenga e Mugulu Omutala Mugulu Makumbi ng'amaze okwokya obuyiira yatandika okunoonya ekyuma ky'embwa ye mu muyonga. Aba amagamaga ekyuma ekyo kwe kukirinnyako. Yasanyuka nnyo ng'akirabye era kwe kugamba nti, “Omugulu gwange gumpadde ekyuma”.

Mu kifo ekyo n’atuumawo Mugulu, n'okutuusa kati ekifo ekyo kiyitibwa Mugulu era bwe butaka bw’Abembogo. Omulimu gw’okuyiggira Obuganda nagwo ne gukakata ku Kayiira. N'okutuusa leero, Abembogo be bayiggira Obwakabaka, era Kabaka bw'aba agenda okukola omukolo gw’okuyiggira Obuganda, Owembogo y’akulembera so ng’era omukolo guno Kabaka agukolera ku lusozi Mugulu.

Obade Okimanyi?

Jjajjaffe yabeeranga mu bizinga by’e Ssese ku kizinga Bunyama.

Ng’ali eyo yakwatibwa ekirwadde. Bwe yagenda ew’omuganga (omusawo ow’ekinnansi) yamulagula nga eddagala ery’okumuwon ya bw’ajja okuliwanga mu jjembe ly‘embogo ekitaali kyangu eri jjajjaffe.

Oluyimba lw'ekika ky'Embogo

Mbogo edited

Search