Abembogo baganja embuga
Omulangira Kimera bwe yalya eppoma yakuba embuga ye ku lusozi Masanafu. Oluvannyuma yakuba embuga endala ku lusozi Gganda. Omulangira Kimera yasembeza Kayiira ku lusegere era n’awasa ne muwala we Namagembe n’amuzaalamu Omulangira Magembe.
Kaddu mutabani wa Kayiira omukulu yasanyusa nnyo Kabaka Kimera. Obutaba nga bantu balala kabaka be yatumanga, Kaddu yayanguwanga nnyo bum kabaka lwe yabanga amutumye.
Olumukabakayeewuunyannyoobwangubwamukoddomi we Kaddu era n'amubuuza nti, “Odduka nga kayuba?” Okuva olwo banne ba Kaddu ne bamukazaako erinnya Kayuba. Kuno kwe kwasibuka erinnya Sekayiba.
Abembogo baaganja nnyo mu Lubiri lwa Ssekabaka Kimera era ne baba ba byafaayo mu Buganda okutwalira awamu.
Abembogo baweebwa ekyalo Ssenge
Kyoto Makumbi Kayiira n’abaana be bwe bamala okutuusa Omulangira Kimera nakkalizibwa ku bwakabaka, ne badda e Ssenge ku kyalo Kabaka Kimera kye yabawa.
Kyoto Makumbi Kayiira yarekera mutabani we omukulu Kaddu okuvunaanyizibwa okukiikanga ewa mukoddomi waabwe Kimera era bwe wabeerangaawo ekimwetaagga amutumiranga.
Wano Makumbi Kayiira yayagala okudda e Mugulu gye yali yeegombye okubeera o1w’obusolo obungi bwe yalabayo ng’ayigga. E Ssenge yalekayo abaana be babiri Kaddu ne muto we Wavvuuvvuumira.
Kayiira asenga e Mugulu Nga bwe kitawoomera matama abiri, “jjajjaffe Kayiira e Ssenge teyayagalayo era yaddayo mu Lubiri ewa Kabaka Kimera n’amusaba amukkirize addeyo e Mugulu gye yali ayokezza oluyiira. Kabaka yamukkiriza; bw’atyo n'adda e Mugulu.
Mu lugendo lwe luno nga batuuse ku mugga Kirema, ogusangibwa e Kitayira mu Busiro, Omutaka Kayilra we yaleegera omubala gw’ekika ne guvuga nti Kadagado kaagwa. Yagireega bw'atyo olw’okujjukira akadagado ka muwala we Namagembe akaagwa mu mazzi bwe baali bamukongojja.
Nga bakyali ku mutala Kitayita waaliwo okwalula abalongo. omuti we baabaalulira baagutuuma Luyina era gukyaliwo na kati o1w’omukolo ogwo. Omutaka Kayiira we yafunira erinnya erya Kizza era eriyitibwa n’omukulu w’ekika n’okutuusa kati.
Makumbi Kayiira ng’ atuuse e Mugulu yasiisira era n'akuba embuga ye ku Lusozi olwo. Yayagalwa nnyo abantu be yasanga mu kitundu ekyo. Abatuuze baamuleeteranga omwenge n’ebirabo ebirala Oluusi Kayiira bwe yanywanga omwenge ne gumutuuka ng’abagu1eese abagamba mu ngeri ey’ekisaazisaazi nti, “Gano amalwa ga jjuule.” Okuva olwo abatuuze ne batandika okumuyita erinnya “Gaajjuule” era ne limukalako. N’okutuusa katl omukulu w’ekika ye Makumbi Kayiira Gaajjuule.
Ku mutala Mugulu Kayiira gye yasinziiranga n’aweereza Obuganda mu mirimu emitongole egitali gimu, ng’okuyiggira kabaka, okusakira kabaka amawulire okuva e Ttanda, n emlrala. Okuva olwo n’okutuusa kati ekifo Mugulu ne kifuuka obutaka bw’Abembogo.