Obwakayiira

Image

Obwakayiira


Obwakayiira bwe buvunaanyizibwa okukulembera ab'ekika ky'Embogo.

Obulamu bwa Kayiira eyasooka

Makumbi yali musajja wa buvunanyizibwa olw'emirimu egy'enjawulo gye yakolanga buli we yabeeranga. Jjajjaffe ono yali Ssaabagabo wa Ssekabaka Kintu bw'atyo yagenda n'Omulangira Kalemeera ng'assiddwako omusango gw'okuganza muka kitaawe, e Bunyoro gye baali bagenze okunonayo ebintu baggye Omulangira aliwe olufuubanja lw'omusango.
Makumbi e Bunyoro yafunayo Obwakawuka (obulunzi bw'ente ya Kabaka Winyi). Era ono yaweebwa obuvunaanyizibwa bw'okukuuma amafumu ga Ddungu (obw'okuyiggira obwakabaka).
Yali muzadde wa Ssekabaka Kimera kubanga yali amuwadde muwala we Namagembe. Yatendeka bulungi abaana be mu buvunaanyizibwa era nga beesigwa.
Jjajjaffe ono yakuba embuga ye wansi w'olusozi Mugulu. Yali ne mukyala we Lukowe azaala abaana be yajja nabo omwali Kaddu, Ssemitego, Walakira, Wavvuuvuumira ne Namagembe.
Bino bye byali ebyalo by'e Mugulu: Lukaaka, Mawonvu ne Baligwa. Naye oluvannyuma olw'okukuba mayiro ebyalo ebisinga byatwalibwa abalala.

Obade Okimanyi?

Jjajjaffe yabeeranga mu bizinga by’e Ssese ku kizinga Bunyama.

Ng’ali eyo yakwatibwa ekirwadde. Bwe yagenda ew’omuganga (omusawo ow’ekinnansi) yamulagula nga eddagala ery’okumuwon ya bw’ajja okuliwanga mu jjembe ly‘embogo ekitaali kyangu eri jjajjaffe.

Oluyimba lw'ekika ky'Embogo

Mbogo edited

Search