Embuga ya Kayiira Makumbi Gaajjuule

Image

Embuga ya Kayiira Makumbi Gaajjuule

Embuga ya Kayiira kye kifo awabeera ekitebe ky'ObwaKayiira. Nazzikuno ng'embuga ya Kayiira enzijuvu ebeera n'ebintu bino wammanga:


Amayumba
Mu mbuga ya Kayiira mubeeramu amayumba amakulu munaana era ge gano:


Amaka g'Obwakayiira
Omutaka Kayiira abeera n'amaka ge amatongole mu ons mbuga. Ennyumba z'abakyala ba Kayiira zaabanga nnya, era ze zino:
(a) Eya Nassaza; Eno yabanga ya mukyala wa Kayiira 199 omukulu.
(b) Eya Musenero; Eno yabanga ya mukyala we My eyamulabiriranga mu byookulya n'ebyokunywa naddala omwenge. Ono ye mukyala eyabeeranga 59Kayiira ku lusegere.
(c)Ennyumba ya Mukuuma; Eno yalinga ya mukyala eyalabiriranga ebintu bya Kayiira.
(d) Ennyumba ya Kabejja; Ennyumba ya Kabejja mwe mwabeeranga mukyala wa Kayiira eyakuumanga abakyala abaakajja mu kisaakaate n'okulabirira abagenyi.
Ennyumba ezo waggulu zaabanga mu bisaakaate bibiri, eky'ebweru n'eky'omunda.
Ennyumba y'Abagalagala
Abagalagala baalinga bakuumi ba Kayiira era nga be baamwanjuliranga abagenyi be oba abantu abalala ababa abazze.

 

Ennyumba y'Abakongozzi
Muno mwe mwasulanga Abembogo n'abanywanyim ab'emikago.
Kirembekibi
Eno ye nnyumba eyitibwa ey'abagenyi. Muno omutaka Kayiira mwe yayaniririzanga abagenyi be era abagenyi be bonna mwe baasookeranga so si kugenda wa Kayiira butereevu. Mu nnyumba muno mwe mwamanyirwanga omuntu omulungi n'omubi. Owoomutuba Bitibyaluggi y'avunaanyizibwa okulabirira enju eno.
Nfanfe
Ennyumba nfanfe ye nnyumba Kayiira mwe yayanirizanga abagenyi be enfiirabulago, ab'emikago n'abalala.

 

Ennyumba y'obuwangwa
Ennyumba y'obuwangwa yabeerangamu ebintu bino wammanga:
(a) Abalongo
(b) Eŋŋoma ya Kadagado
(c) Engalabi Kyojjojje. (Ekyagiyisanga kityo nga af om bw'oba waakagiraba ogyewuunya).
(d) Embwa. Mu mbuga ya Kayiira mwabangamu embwa ssatu; Semagimbi, Senkungu ne Nnamaaso.


Ennyumba ya Nnyanzi
Ennyumba ya Nnyanzi mwabeerangamu engo. Ekyagiyisanga kityo lwa kuba ng'Omukongozzi Nnyanzi mwe yabeeranga. Yakuumanga ekyoto engo kwe yayoteranga n'okugitundula amaggwa.

 

Ebyoto
Mu mbuga ya Kayiira mwabeerangamu ebyoto ebitaazikiranga. Ekimu kyabeeranga mu nnyumba Kirembekibi n'ekirala mu nnyumba ya Nnyanzi n'ebirala wabweru (Owoomutuba Mayanja Mumiranso y'avunaanyizibwa ku nku ezikuma ebyoto n'okufumba mu mbuga ya Kayiira).


Ekiraalo
Waabangawo ekiraalo n'ebisibo by'embuzi n'endiga. Mu kiraalo mwalinga muteekwa okubeeramu ente enzirugavu, emmyufu, eya lubombwe n'enjeru.

Ente zino zaalinga za mikolo egitali gimu. Ekiraalo kyayambanga obutawammanta singa waagwangawo OVEY omutawaana okugeza singa Kayiira yavanga mu nsi. Owoomutuba Mwanamugimu Ssendusu ye mukulu w'okukuuma ekiraalo ky'Obwakayiira.

Obade Okimanyi?

Jjajjaffe yabeeranga mu bizinga by’e Ssese ku kizinga Bunyama.

Ng’ali eyo yakwatibwa ekirwadde. Bwe yagenda ew’omuganga (omusawo ow’ekinnansi) yamulagula nga eddagala ery’okumuwon ya bw’ajja okuliwanga mu jjembe ly‘embogo ekitaali kyangu eri jjajjaffe.

Oluyimba lw'ekika ky'Embogo

Mbogo edited

Search