Embuga ya Kayiira ensangi zino
Omutaka Kayiira ne bazzukulu be mu nsagi zino twefunyiridde ku gwa kuzza buggya embuga n'Obutaka bwaffe oluvannyuma lw'emyaka egikunuukiriza mu asatu egya kanaayokyani.
Mu bimu ku bikoleddwa mwe muli okuzimba ekisaakaate eky'emmuli bazzukulu ba Kayiira we tusisinkana ku malamaga gaffe aga buli mwaka.
Mu kisaakaate munda mulimu ennyumba ey'ebyafaayo eyitibwa Kirembekibi era ng'eno ekyakolebwamu obulombolombo n'emizizo ebyakolebwanga okuva edda. Abagenyi b'embuga n'abazzukulu mwe batuukira. Okumpi n'ekisaakaate we wali amaka ga Jjajja Kayiira amatongole era ag'o kubutaka.