Omuntu oba abantu baafunanga omuziro nga basinziira ku bintu nga bibiri.
Eky'essanyu:
Kino kyavanga ku kintu ekyo engeri gye kyasanyusangamu abantu abo ne bakifuula kya luganda lwabwe ne basalawo okukyeddira.
Eky'ennaku:
Omuntu oba abantu bwe baafunanga ekintu ekyabaatusangako obuzibu, gamba ng'okutta omuntu waabwe, obuvune, entiisa n'ebirala omuntu oba abantu abo baasalangawo okweddira ekintu ekyo.
Akabbiro kye ki?
Akabbiro kye ky'omuzizo ekyokubiri ku muziro gwo, anti kye kintu ekyali eky'essanyu oba eky'ennaku. Omuntu oba abantu olw'oluganda olwaliwo oba olw' obulabe bwe baakifunako nabo ne basalawo okukiziza.
Naye olw' okuba abantu baali bamaze okufuna kye beddira, nga tebayinza kuba na miziro ebiri, kye baavanga bakiyita akabbiro, era nako tekaliibwa.
Omukulu w'ekika (Owaakasolya)
Omukulu w'ekika Owaakasolya abeera omu mu kika nga musajja. Ajja asikirwa ab'olulyo lwe okusobola okukuuma ekifundikwa ky'obuvunaanyizibwa bw'ekika ekyo una n'okukitwala mu maaso.
Owessiga
Owessiga mu kika abeera omwana ow'obulenzi azaalibwa Owaakasolya eyatandikawo ekika ekyo mu luberyeberye (abangibayitibwa Bamasiga). Kitaawebw' amusigikira essiga awo n'akakasibwa okubeera Owessiga era olw' obukulu bwe ajja asikirwa okukuuma entebe y'obukulu bw'Essiga eryo nga bwesigama ku nnono.
Owoomutuba
Owoomutuba ye mwana ow'obulenzi azaalibwa Owessiga namutwala ewa kitaawe Owessiga okumukakasa okubeera Owoomutuba erane bamwanjula ewajjajjaawe Owaakasolya nga bw'azzukuzza omuzukkulu nga basinziira mu nnono egobererwa okusimbirwa omutuba.
Owoolunyiriri
Ono ye mwana ow'obulenzi azaalibwa Owoomutuba. Nga bw'olabye okuva waggulu, enkola y'emu egobererwa.
Owooluggya
Ye mwana ow'obulenzi azaalibwa Owoolunyiriri bw'amala okuzaala era n'azzukuzza. Omuwendo bwe guwera ayanjulirwa abakulu b'Olunyiriri okusobola okukumaakuma abazzukulu okubeera awamu n'okutuusa ensonga zaabwe eri omukulu w'olunyiriri.
Enju
Owenju ye mwana ow'obulenzi azaalibwa omukulu w'Oluggya; naye aweebwa obukulu ng'asinziira ku byetulaze waggulu.