Okuzaama kwa Kayiira n'okuzzaawo omulala
Kayiira ng'afudde tugamba nti azaamye. Ssaabalangira atwala ekita ky'omwenge nabikira Natiigo ow'Olugave, oyo y'atwala amawulire g'okuzaama kwa Kayiira eri Ssaabasajja mu Lubiri.
Kabaka bw'amala okufuna amawulire g'okuzaama kw'omutaka Kayiira, aweereza abambowa ab'okukola omukolo gw'okutereka omulambo gwa Kayiira.
Edda Kayiira bwe yabanga azaamye Abakongozzi wamu n'Abaweeka tebaamuziikanga okuggyako nga bamaze vzg okutegeeza Kabaka n'aweereza abambowa ne bajja okumutwala ku lusozi.
Era tewaabanga muntu mulala okuggyako abambowa be baamutwalanga ku busozi eri amasiro ne baswajjiraswajjira. Ekifo omuziikwa ba Kayiira kiyitibwa masiro.
Ebbanga Kayiira ly'amala nga tannafulumizibwa mu nju, Omutaka Nattiigo ow'Olugave y'akuuma omulambo gwe n'okutuusa kati y'akola omukolo ogwo. Mu kiseera ekyo Abaamulinnyabigo baba bakuba eŋŋoma eziyitibwa emigudo.
Okuggya omulambo gwa Kayiira mu nju ng'entegeka ziwedde, anaamuddira mu bigere abikka akabugo ku mulambo ne balyoka bagufulumya era omusika ono ateekebwako nga Kayiira tannaziikibwa.
Naye olw'entabuka eyaliwo wakati wa Ssekabaka Ssuuna e Wamala amale asibe Kayiira Mukasa afiire e Buwambo mu Kyaddondo, akalombolombo k'okutwalibwa mu masiro ne kayimirizibwa era tusaba kalongoosebwe.