Emituba gy'Essiga Lya Kaddu Sekayiba
Essiga lya Kaddu Sekayiba e Ssenge busiro
Essiga lya Kaddu Sekayiba liddukanyizibwa ku nnono n’obuwangwa ng‘omukulu w’essiga ye Kaddu Sekayiba omwana omuberyeberye ow‘omutaka Makumbi Kayiira Gaajjuule.
Essiga lino lyakafuna Bassekayiba asatu mu mukaaga (36) ng‘ono aliko Samuel Mukwaya ye Kaddu Sekayiba ow‘asatu mu omusanvu (37).
Essiga lino lisangibwa ku mutala Ssenge mu Busiro. Obukulu bw'essiga lino buviira ddala ku Kabaka Kimera n’emirimu gy’essiga lyaffe egy'obukongozzi we gyatandikira.