Emituba gy'Essiga Lya Ssemitego e Nnyanzi
Essiga lya Ssemitego e Nnyanzi
Obukulu bw’essiga
Lino lye Ssiga eryokusatu mu kika ky’Embogo okuddirira erya Sekayiba e Ssenge. Essiga lino lyatandikira ku mwana wa jjajjaffe Kayiira Makumbi Gaajjuule ayitibwa Ssemitego.
Ye mwana omulenzi owookusatu owa jjajja Kayiira Makumbi. Aba ne muto waabwe Kasamba bwe bajja n’Omulangira Kimera.
Obutaka bwa semitego e nyanzi
Essiga lya sémitego lisangibwa ku lusozi Nnyanzi mu Ssingo ng’ovudde e Mityana n’ogenda e Busujju okulinaana omugga Nnyanzi. Ssemitego Kyambu asooka yalya obutaka buno ng’ava e Mugulu ewa kitaawe Makumbi Kayiira Gaajjuule.
Kayiira Gaajjuule bwe yalya e Mugulu, mutabani we
Ssemitego yamala ebbanga ng'ali naye. Era yasooka kubeera mu Nkwale mu Migo nga gy’ava n'agenda ayigga.
Oluvannyuma yasenguka n’asenga ku lusozi Nnyanzi n’akuba okwo embuga ye nga yeegombye okuliraana ennyanja Wamala n'okuyigga enjobe n’engabi ku mugga Nnyanzi. Ne Kabaka n’asiima Ssemitego akube embuga e Nnyanzi mu Ssingo.
Okusooka obutaka nga buli ku byalo bisatu Nnyanzi, Kabanda ne Kigogolo. Kati embuga ya Ssemitego err ku bugazi bw’ettaka bwa mayiro emu.